Abazannyi ba KCCA 4 bakaligiddwa FUFA lwa kusiiwuuka mpisa

AKAKIIKO akakwasisa empisa aka FUFA Competitions Disciplinary Panel kakalize abazannyi ba KCCA 4 n’emipiira ebiri (2) ne kabalagira n’okusasula 500,000/= buli muzannyi.

Abazannyi ba KCCA 4 bakaligiddwa FUFA lwa kusiiwuuka mpisa
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision

FUFA yagasseeko n’okutanza omutendesi Morley Byekwaso 1,000,000/= saako ne ttiimu ya KCCA yonna 1,000,000/= olw’okulemmwa okufuga abawagizi obutakola fujjo nga balemagana ne Vipers (2-2) ku Ssande mu liigi. 

Kcca2

Kcca2

Abamu ku bazannyi abaakalagiddwa kuliko, Ahraf Mugume, Musa Ramadhan. Innocent Wafula ne Sadat Anaku era baakusubwa ensiike okuli Police FC enkya ku Lwokutaano ne SC Villa ku Lwokubiri wiiki ejja. 

Kino kiddiridde abazannyi bano okwetooloola omuyambi wa ddiifiri, Dick Okello nga bamuwakanya okukkiriza ggoolo ya Bobosi Byaruhanga gye yateeba ng’ebula eddakiika bbiri omupiira guggwe. 

Kcca7

Kcca7

Deo Mutabazi akulira akakiiko akakwasisa empisa yagambye nti ebikolwa bino bitta omupiira nga tetusobola kubikkiriza kugenda mu maaso. 

Mu ngeri y’emu Moses Oloya atendeka baggoolokippa ba KCCA yakaligiddwa obutaddamu kukola biteeka mupiira mu kaseera kazibu. 

Kcca3

Kcca3