Aba Villa lwe baateeka akazito ku Otti n'asuulawo omulimu

SIZONI ya 1985, y’emu ku zijjukirwa mu byafaayo by’omupiira gwa Uganda. Mu biseera ebyo, Villa wansi w’omutendesi David Otti ne KCC eya Moses Nsereko ze zaali zisinga okubeera ku mbiranye.

Omugenzi Otti
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#David Otti #SC Villa #KCCA FC

SIZONI ya 1985, y’emu ku zijjukirwa mu byafaayo by’omupiira gwa Uganda. Mu biseera ebyo, Villa wansi w’omutendesi David Otti ne KCC eya Moses Nsereko ze zaali zisinga okubeera ku mbiranye.

Mu kaweefube w’okulaga essajja, Villa yafuna kkampuni y’amafuta eya AGIP nga siponsa ekyayongera ebbugumu mu liigi. Villa yakozesa omukisa guno, okusokoola KCC bwe yaggyayo abazannyi okuli; Godfrey Kateregga ‘Superstar’, Yusuf Ssonko, ggoolokipa Jamil Kasirye, kwe yagatta Magid Musisi okuva mu Pepsi FC ne kyongera okunyweza ttiimu eno eyali kyampiyoni.

Olw’okuba ye yali kyampiyoni, Villa yakwatira Uganda bendera mu za Africa Cup of Club Champions mu 1985 era akalulu kaagisuula ku El Hilal eya Sudan. Villa eyalimu abazannyi nga; Jamil Kasirye, Rogers Nsubuga, Geoffrey Higenyi, Paul Hasule, Yusuf Ssonko, Shaban Mwinda, Edward Nassamba, Ronnie Vvubya, Sam Mubiru, Sunday Mokiri, Twaha Kivumbi, George Muwanguzi n’abalala ye yasooka okukyaza El Hilal e Nakivubo mu nsiitaano eyanyumira abalabi.

El Hilal ye yasooka okulya empanga era abagenyi baakulembera okumala ekiseera, wabula oluvannyuma Sam Mubiru n’ateebera Villa ey’ekyenkanyi. Mu bwangu, Mubiru yayongerako endala Villa n’ekulembera (2-1) olwo enduulu n’ebuutikira e kisaawe. Wabula ensobi ya ggoolokipa Sserwanga, yayamba El Hilal okudda mu muzannyo ne gubeera (2-2).

Mu kitundu ekyokubiri, Villa yakomawo eswakidde, Kivumbi mwe yateebera bbiri n’eguggwa (4-2). Wadde Villa yali ewangudde, abawagizi ba Villa tebaali bamativu n’omutindo gwa ggoolokipa Sserwanga ne bajulirira Nassamba eyali tannafuna layisinsi ya CAF emukkiriza okuzannya omupiira guno. El Hilal, ggoolo ze yateebera ku bugenyi, zaagiwa essuubi okuyitirawo mu kibuga Khartoum.

ABAWAGIZI BAACOOMERA OTTI

Mu gw’okudding’ana, Otti yakola enkyukakyuka mu ttiimu, bwe yaggya obwakapiteeni ku Mubiru, n’abuwa Hasule. Yasuula ne Sserwanga n’aleeta Kasirye wabula El Hilal yawangula (2-0) n’eyitirawo ku ggoolo y’oku bugenyi.

Okuwanduka abawagizi olunwe baalusonga mu Kasirye gwe baalangira okusuulawo ttiimu yaabwe n’addukira mu Buwalabu ku pulo. Otti naye abawagizi tebaamutaliza bwe baamulangira okulondesa ttiimu olukwanokwano.

Oluvannyuma lw’okumusongamu olukongoolo, Otti yalekulira obutendesi bwa Villa kyokka aba Villa baamulumiriza ensonyi okuzifuula obusungu. Mu ngeri y’olujereegerero, abawagizi baategeeza Otti obutendesi tebwamuweebwa lwa busobozi wabula lwakuba yali awagira Villa.

ABAZANNYI BEEKWASA KAMYA

Abazanyi ba Villa, bo okuwanduka baakussa ku bakama baabwe okusuula maneja waabwe Eriab Kamya ku kibinja ekyagenda e Sudan. Bagamba nti Kamya yali amanyi okubudaabuda n’okuzzaamu abazannyi amaanyi.

Abakungu ba Villa beetemamu ku kya Otti okulonda ku ggoolokipa Sserwanga ne Kasirye. Otti bwe yava mu Villa, yasibira mu Volcano FC ey’e Kenya sso nga Villa yayongera kutagala okukkakkana nga KCC ebasuuzizza liigi ya 1985.

kigonyageorge13@gmail.com

0772832149