Pulezidenti Museveni alonze Dr. Zeija ku bumyuka bwa Ssaabalamuzi wa Uganda

7th February 2025

Pulezidenti Museveni alonze Dr. Flavian Zeija okubeera omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda, ng’adda mu bigere bya Richard Buteera agenda okuwummula mu April w’omwaka guno.

Pulezidenti Museveni alonze Dr. Zeija ku bumyuka bwa Ssaabalamuzi wa Uganda
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Mawulire #Dr. Flavian Zeija
116 views

Pulezidenti Museveni alonze Dr. Flavian Zeija okubeera omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda, ng’adda mu bigere bya Richard Buteera agenda okuwummula mu April w’omwaka guno.

Zeija okulondebwa, amezze banne okuli Irene Mulyagonja atuula ku kkooti ejulirwamu, Catherine Bamugemereire atuula ku kkooti ey’oku ntikko, ne Geoffrey Kiryabwire atuula ku kkooti ejulirwamu, nga bonna baali baateekamu okusaba kwabwe ku kifo kino.

Ida Nakiganda

Ida Nakiganda

Mu nkyukakyuka zino ezaalangiriddwa akola ng’akulira eby’amawulire mu kakiiko akalonda abalamuzi aka Judicial Service Commission Maria Theresa Nabulya, Museveni era alonze mutabani w’omugenzi Paul Kawanga Ssemogerere nga ye Kalooli Lwanga Ssemogerere okubeera omulamuzi wa kkooti enkulu.

Mu ngeri y’emu, abadde omulamuzi mu kkooti ejulirwamu Muzamil Mutangula Kibedi naye Museveni amulonze okutuula ku kkooti ey’oku ntikko.

Omulamuzi Faridah Bukirwa eyali mu misango gy’Abasiraamu nga bagezaako okufuumuula Shiekh Shaban Ramadhan Mubajje ku bwa Mufti wa Uganda, ng’abadde yakubwa akatebe ku bigambibwa nti waliwo fFayiro ze yakwata obubi we yabeerera omulamuzi w’e Jinja, naye akomezeddwawo oluvannyuma lw’okunoonyerezebwako ne kizuulwa nti talina nsobi n’emu gye yakola.

Principal Judge Dr. Flavian Zeija.

Principal Judge Dr. Flavian Zeija.

Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ekigatta Bannamatteeka Simon Peter Kinobe, n’abadde akulira eby’amateeka mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu Ida Nakiganda nabo balondeddwa okubeera abalamuzi ba kkooti enkulu.

Abalamuzi abalala abalondeddwa okutuula ku kkooti ejulirwamu, kuliko Ketra Katunguka, Cornelia Sabiiti Kakooza, Stella Alibateese, Florence Nakacwa, Jesse Byaruhanga, John Mike Musisi, abadde akulira kkooti enkulu ewozesa emisango gy’engassi Musa Ssekaana, ne Esta Nambayo.

Ate abalamuzi ba kkooti enkulu abaalondeddwa kuliko abadde omuwandiisi omukulu ow’ekitongole ekiramuzi Sarah Langa Siu, Rosemary Bareebe Ngabirano, Mary Babirye, Lilian Alum Omara, Charles Kasibayo.

Ku balala kuliko, Mary Kaitesi Kisakye, Susan Odongo, Joanita Gertrude Bushara, Vincent Opyene, Sarah Birungi Kalibbala, Isaac Bony Teko, Deepa Verma, Flavia Grace Lamuno, Fatuma Nanziri Bwanika, Kafuuzi Kwemara, Godfrey Himbaza, Andrew Khaukha, Dr. Ginamia, ne Melody Ngwatu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.