ABADIVENTI mu Luweero, Nakaseke ne Nakasongola bayigga obukadde obusoba 100 nga omu ku kaweefube w"okwetegekera okutongoza obulabirizi bwa North Buganda Field obwabaweereddwa nga buva ku bwa Buganda Conference wakati mu kusaba abantu okunyweza eddiini nga batandikira mu maka ne mu masomero.