Zari akunze basereebu okuwagira mu nteekateeka z'embaga ya Kyabazinga

ZARI Hassan akunze basereebu okuwagira mu nteekateeka z’embaga ya Kyabazinga William Gabula Nadiope IV ne Inhebantu Jovia Muteesi ey’okubeerawo nga November 18, 2023 ku Lutikko ya Christ Cathedral e Bugembe

Zari ng'ali ne bba Shakib kw'ossa Kasule Lumumba n'abalala abali ku kakiiko akategeka embaga ya Kyabazinga.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Zari #akunze #basereebu #embaga #Kyabazinga

Bya Ignatius Kamya 

ZARI Hassan akunze basereebu okuwagira mu nteekateeka z’embaga ya Kyabazinga William Gabula Nadiope IV ne Inhebantu Jovia Muteesi ey’okubeerawo nga November 18, 2023 ku Lutikko ya Christ Cathedral e Bugembe.  

Bw'abadde mu lukuungaana lwa bannamawulire olubadde ku Sheraton nga yaakatonya okuva e South Africa asabye abantu bonna omuli ne basereebu banne okwetaba mu nteekateeka z’emukolo omunene ogwo nga bagenda e Kololo ku kisaawe enkya ku mukolo gwe bayise “Busoga Royal Banquet” mwe bagenda okusondera ssente z’embaga ya Kyabazinga. 

Yagambye nti amannyi Abasoga bangi abalina amannya n'essente abali mu Kampala nga noolwekyo bandize ne balagako akasente nga basasula ssente z’enteekateeka y’embaga ya Kyabazinga. 

Minisita Justine Kasule Lumumb,a owa guno na guli mu office ya Kkatikiro wa Uganda era nga y’akulira ebyamawulire n’ebyamasanyu ku kakiiko k’embaga yagambye nti omukolo gwa kutandiika ku saawa 11:00 ez’olweggulo era n'asaba abo bonna abanaagwetabako okwambala mu ngeri eweesa ekitiibwa. 

Yagambye nti abanaagwetabako emmeeza eri ku 5,000,000/-  ate abantu ssekinoomu bakusasula emitwalo 500,000/-.

N'agamba nti abantu bonna bandigenze ku mukolo guno okwetaba mu byafaayo by’Obwakyabazinga.