Yinginiya bamusibye lwa bintu bya ddwaaliro
Apr 29, 2024
YINGINIYA w’eddwaaliro e Kiruddu bamusibye lwa bintu bya ddwaaliro.Darlington Tumukungize 39, omutuuze w’e Kakoola - Ndejje mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo asimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Makindye n’asindikibwa mu kkomera.
Yinginiya Tumukungize
YINGINIYA w’eddwaaliro e Kiruddu bamusibye lwa bintu bya ddwaaliro.
Darlington Tumukungize 39, omutuuze w’e Kakoola - Ndejje mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo asimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Makindye n’asindikibwa mu kkomera.
Tumukungize yakwatibwa omuserikale wa poliisi D/SP
Sowedi Muhammad bwe yali alawuna ekiro. Kigambibwa nti bino byaliwo nga April 22, 2024 mu Kampala ng’omuwawabirwa mu kumwaza yalina n’obuuma 20 obuyambako abalwadde abassiza ku byuma.
Poliisi ng’eri n’akakiiko akalwanyisa enguzi aka State House Anti Corruption Unit baakola okunoonyereza ku yinginiya ono n’asangibwa n’omufaliso gattako ebintu by’eddwaaliro ebirala nga biriko obulambe bw’eddwaaliro ly’e Kiruddu. Yasindikiddwa ku limandi okutuusa nga May 14, 2024.
No Comment