WABADDEWO akasattiro abatemu bwe balumbye kansala ne bamufulumya ennyumba ye ne bamusalira emmanju obulago ng'embuzi.
Poliisi e Mubende, ekutte abantu babiri, abagambibwa okwekobaana ne batta kansala ono era omusuubuzi abadde owamaanyi mu kitundu ekyo. Abadde akiikirira bakadde ku Ggombolola.
Attiddwa, ye Brusio Mburanoomwe 80 omusuubuzi era omutuuze ku kyalo Nkandwa mu Ggombolola y'e Kibalinga e Mubende era nga mu kiseera kino, omulambo , gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mubende.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lamerk Kigozi, ategeezezza nti omugenzi abadde yakatunda yiika emu ey'ettaka, nga kisuubirwa nti ne ssente , bazitutte, oluvannyuma lw'okumuyingirira ne bamutta.