Amawulire

VJ Jjingo atutte mukazi wa Haruna Mubiru n’asiramuka

ENNAKU eri ku muyimbi Haruna Mubiru eyoza lumonde, bakazi be babasombye kutuuka kubamumalako!

Faridah ne Ssaalongo VJ Jjingo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ENNAKU eri ku muyimbi Haruna Mubiru eyoza lumonde, bakazi be babasombye kutuuka kubamumalako!
Akyasembyeyo ye Faridah Nantongo gwe baakazaako erya Faridah Kitooke olw’oluyimba Ekitooke kifansalira. Faridah yali mu luyimba olwo ng’azannya ng’omuwala omubalagavu gwe balina okusalira alabike bulungi ng’abalala.
Eby’oluyimba bwe byaggwa ne bagwa mu mukwano bombi ne Haruna Mubiru ne bazaala omwana omulenzi era ye mwana wa Haruna omukulu.

Faridah ne mikwano gye ku mukolo.

Faridah ne mikwano gye ku mukolo.


Wabula w’osomera bino nga Faridah ali wa Ssaalongo VJ Jjingo afumba! Jjingo y’omu ku bakafulu mu kwogerera ffirimu za ssasi ku ssasi, nnyama ku nnyama. Abaagalana
bano laavu yaabwe baagiroopye n’ewa ssenga wa Faridah, Jjingo bwe yagenzeeyo okukyala mu butongole ng’omukolo gwabadde Buddo- Nakasozi omwezi oguwedde.
Faridah mu kwogerako ne Bukedde ku Mmande ku bya laavu ye ne Jjingo yagambye nti, bukyanga afuna basajja, yafunye Jjingo amanyi laavu kubanga n’okusiramuka yasiramuse kati ye Ssaalongo Hassan Jjingo.
Faridah ye mukyala wa Mubiru akyasembeyo okutwalibwa, eyasooka yali Zaina  emyaka giri ng’akyali mu bbandi ya Eagles Production eyasasika mu 2014.
Zaina bwe yagenda, Haruna n’ayingizaawo Raudha Ssonko muwala w’omugagga Guster Lule Ntakke gwe yakuba empeta ensuffu kyokka oyo ate naye yagenda
mu Amerika.
Mu budde nga Harunah ategeka okukola bbandi ya Kream Production alyoke ave mu Eagles Production, yawasa muwala wa Moses Lumala eyali avuga emmotoka z’empaka gwe bayita Hadja Lumala.
Ono yamutwala mu makage e Kabowa gye baabeera oluvannyuma lw’emikolo egyakolebwa nga Hadja ali lubuto lukulu ng’akabonero k’omuntu ali mu laavu enkambwe.
Olwo Haruna yali afuuse na Hajji kubanga eby’e Mecca yali nabyo abimaze. Ebya Hadja essaawa eno ebimanyikiddwa bitono kyokka ekituufu ekimanyiddwa nti, mu Kampala mwo mw’ali.

Faridah ne mikwano gye ku mukolo.

Faridah ne mikwano gye ku mukolo.


Faridah agamba nti ne bwe bulibeera ddi alisigala munne wa Haruna Mubiru kubanga kye baakola baakikola n’amuzaalira ‘First born’. Agamba nti, mu linnya lya Haruna alinamu omukono kubanga oluyimba olwamuleeta ku maapu yalwetabamu ekitundu kinene.
Faridah bwe yabadde ayogera ne Bukedde ku by’omukolo guno gye yalagidde ssengawe mukwano gwe ono, yasoose kwegaana n’agamba nti mugandawe ye yayanjudde muganda wa Jjingo.
Kyokka bwe yabuuziddwa bwe kisoboka okuba nga muganda we amufaanana nnyo nga n’owa Jjingo amufaananira ddala, awo we yayogeredde amazima n’awa Bukedde ka vidiyo akaabadde kalaga ekyabadde ku mukolo. Jjingo bwe yatuukiriddwa yagaanye okwogera ku byabaddewo.
Tags: