Amawulire

Vision Group ne UCU basse omukago mu nteekateeka y'okukuza olunaku lw'abajulizi

Kampuni ya Vision Group esse omukago n’ettendekero lya Uganda Christian University UCU okutuusa eri bannayuganda n’ab’amawanga amalala ebikujjuko byonna eby’olunaku lw’abajuluzi olubeerawo buli mwaka nga ssatu omwezi ogw’omukaaga ng abwe binaatambula.

Akulira Vision Group Don Wanyama n'akulira UCU Aaron Mushengyezi nga bassa omukono ku ndagaano ekoleddwa
By: Joan Nakate, Journalist @New Vision

Kampuni ya Vision Group esse omukago n’ettendekero lya Uganda Christian University UCU okutuusa eri bannayuganda n’ab’amawanga amalala ebikujjuko byonna eby’olunaku lw’abajuluzi olubeerawo buli mwaka nga ssatu omwezi ogw’omukaaga ng abwe binaatambula.

Akulira ettendekero lino Aaron Mushengyezi ategeezezza nga kampuni eno bw’erina emikutu egy’enjawulo okuli egya TV, Radio, empapula n’emitimbagano egy’enjawulo era nga gino gye gyabasikiriza okwegatta nayo okukulemberamu emikutu gy’amawulire egy’enjawulo eginaabaawo ku lunaku olwo.

Rev.Polof. Kitayimbwa ng'annyonnyola

Rev.Polof. Kitayimbwa ng'annyonnyola

Anyonyodde nti ekkanisa ya Uganda yasiima ettendekero lino okubeera abategesi ab’omwaka guno nga bwe kityo kibakakatako okukola obuteebalira okubatuusaako eby’ensusso obutafaanaganako nga bwe gubadde emabega.

Muno mwe muli okukola okunoonyereza okwenjawulo ku bajulizi bonna n’ebikwaata ku lunaku luno ebikusike nga beyambisa ekkungaanyizo ly’ebitabo ery’ettendekero lino era nga bino byonna bya kubeera ku mikutu gya mawulire gyonna egya kkampuni eno.

Rev professor John Kitayimbwa ng’ono ye ssentebe w’olukiiko olutegesi era amyuuka Vice Chancellor w’ettendekero lino yagambye nti bataddewo enteekateeka egenda okusobozesa abavujjirizi bonna abaanaavayo okussa ensimbi mu nteekateeka eno omuli okubalangira bizinensi zaabwe ku bwereere okumala ebbanga eggere, bwatyo  n’asaba abasobola okuvaayo okubongera ensimbi.

Akulira Vision Group Don Wanyana ng'ali n'akulira ettendekero lya UCU Aaron Mushengyezi oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano

Akulira Vision Group Don Wanyana ng'ali n'akulira ettendekero lya UCU Aaron Mushengyezi oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano

Ono  asiimye gavumenti olw’ensimbi obuwumbi 2 ezaabaweebwa okutegeka ebikujjuko bino era ng’egimu ku mirimu egikoleddwa mulimu okuzimba kabuyonjo eziwera, okuyoyoota ekiggwa kyonna,okusiiga ebiziimbe byonna Langi n’emirimu emirala egy’enjawulo.

Ye ssenkulu wa kampuni ya Vision Group Don Wanyama asuubizza okussa ekitiibwa mu nkolagana eno n’ategeeza nga kkampuni eno bw’egenda okweyambisa emikutu gyaayo gyoona okubunya amawulire eri eggwanga lino ag’olunaku luno n’amakulu gaalwo.

Bano oluvanyuma baatadde emikono ku ndagaano ekakasa enkolagana eno

Tags: