Bya Eria Luyimbazi Ne Racheal Nankya
EKITONGOLE ekivu-naanyizibwa ku bigezo mu ggwanga, ekya UNEB kiyungudde abasomesa 13,000 okutandika okugolola ebigezo bya PLE n'ebya S4.
Omwogezi w'eki-tongole kino, Jennifer Kalule Musamba yagambye nti UNEB yasunsudde abasome-sa 6,000 abagenda okugolola ebigezo bya PLE mu bifo 13 ate abasomesa 8,000 be bagenda okugolola ebigezo bya S4 mu bifo 20 okwetooloola egg-wanga era nga we bajja n'okugololera ebya S6.
Yagambye nti UNEB esuubira okufulumya ebigezo bya PLE mu wiiki eyookusatu mu mwezi gwa January 2024 era nga empapula abayizi kwe bakolera ebigezo zaamaze okus-unsula ziweerezebwe mu bifo we bagenda okubigololera ate ebigezo bya S6 bigenda ku komekkerezebwa nga December 1, 2023.
Yagasseeko nti waabaddewo aba-saasaanyizza obubaka obuwubisa abantu nti waliwo ensobi ezaakolebwa mu kigezo kya S4 ekya Physics ekitali kituufu.
Yagambye nti mu kukola ebigezo bya S6, waliwo emivuyo egyazuulwa omuli e Kyotera gye baakwatira omuyizi wa Mbarara University Alex Muddu eyapangisibwa omuyizi Patrick Kajwaya asoma ku ssomero lya Na-kasoga SS okumutuuli-ra ebigezo by'okubala.
Yategeezezza nti era ku ssomero lya East Secondary School Buyala e Jinja waliwo omuyizi eyakukusizza essimu n'agiyingiza we bakolera ebige-zo era essimu eno yatwaliddwa ku poliisi e Jinja nga ekizibiti ate ku ssomero lya Good Heart SS waliwo omu ku bakozi b'omu labalatole eyakwatibwa ng'agezaako okuyamba abayizi.