Tekinologiya ono agenda kweyambisibwa okuwandiisa abantu obukadde 17 n’emitwalo 20 abatalina densite za ggwanga, n’okuzza obuggya densite obukadde 15 n’emitwalo 80 ezigenda okuggwaako mu 2025.
Bino byogeddwa avunaanyizibwa ku mirimu n’okuwandiisa abantu mu kitongole kya NIRA Edwin Tukamuheebwa bwabadde mu musom gw’okutendeka bannamawulire ku ngeri gye bayinza okuwandiika ku by’okukuuma n’okulabirira abantu abali mu bwetaavu, nga gwategekebbwa aba Parliamentary Forum on Social Protection. Gubadde ku Imprial Royale Hotel mu Kampala olwaleero.
Tukamuheebwa agambye nti NIRA egenda kuwandiika abakozi 11,000 okwetoloola eggwanga, abagenda okukola omulimu gw’okuwandiika abantu abanaafuna densite mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2023/24.
Abantu abateesobola naddala abakadde, Tukamuheebwa agambye nti bonna baakuwandiisibwa era bajja kubasanga mu mayumba gaabwe bawandiikibwe awatali kuleka muntu n’omu mabega.
Kino baakukikola bwe bati okusobola okwewala abakadde ababadde beemulugunya olw’obutafuna ssente z’abakadde nga kiva ku butabeera na densite ya ggwanga.