Bya Musasi Wa Bukedde
SSENTEBE alumirizza poliiisi n’amagye okumukkakkanako ne bamukuba emiggo n’okumusamba ensambaggere wamu n’okumunyagako ensimbi ze.
Pius Katimbo, ssentebe w’e kyalo e Nakulabye zooni 4 mu munisipaali 'ye Lubaga ye yakiguddeko abaserikale okuva ku poliisi ya Old Kampala okwabadde ab’amaggye, poliisi n’ababadde mu ngoye za bulijjo bwe baamukakanyeko ne bamukuba ne bamuleka ng’anyiga biwundu.
Katimbo agamba nti abaserikale era baamunyazeeko ensimbi z’ emitwalo 30 wamu n’okwonoona essimu ye ‘smartphone’ ate ne batakoma okwo ne bamuggulako n’emisango gye bagambye mbu yabadde abalemesa okukola emirimu gyabwe.
Bino byabaddewo ku Mmande akawungeezi, abaserikale bwe babadde bakola ebikwekweto mu kitundu nga bagobagana n’abavubuka be babadde bakwata ne batomeragana n’omwana wa ssentebe ow’omwaka ogumu n'atuuka n’okuzirika.
Katimbo agamba nti bwe yabagambyeko lwaki abalinnye omwana we okumwanukula kwabadde kumukakkanako kumukuba era oluvanyuma ne bamukuliisa okutuuka ku poliisi ya Old Kampala gye baamugguliddeko ogw’okulemesa okukola emirimu gyabwe ku Sd: 101/22/8/2022.
Ono yagambye nti yeewuunya ebitongole ebikuumaddembe okulemwa okussa ekitiibwa mu bakulembeze b’ebitundu kubanga yatuuse n’okubeeyanjulira n'abalaga ne kaadi wabula nga tebawuliriza.
Yagambye nti ayagala afune obwenkanya abaamukubye bakangavvulwe ne ssente ze ezaabuze zimuddizibwe.
Abatuuze baavumiridde ekikolwa ky’abakumadembe ate okufuuka abatyoboozi b’eddembe ne batuuka n’okudda ku mukulembeze waabwe ne basekula nga basekula ebinyeebwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owesigire ategeezezza nti abadde tannaba kumanya ku nsonga za kukubwa kwa ssentebe.
Comments
No Comment