SSENTEBE asimatuse okuttibwa abatamanyangamba bwebalumbye amakage mu kiro ekikeesezza olunaku olwa leero ne bateekera emmotoka ye omuliro kwossa n'okwasa endabirwamu z'ennyumba.

Emmotoka eyayokeddwa
Bino bibadde ku kyalo Bujja mu divizoni ya Nyendo Mukungwe mu kibuga Masaka nga kiteeberezebwa nti entabwe yavudde ku Ssentebe Tom Ssekalegga okulemera sitampu oluvanyuma lw'okumuwangula mu kalulu Ka bassentebe akaakaggwa.
Kigambibwa nti Ssekalegga yali amazze ku bwa Ssentebe bw'ekyalo kino emyaka egisoba 20 wabula mu kulonda okuwedde yakomawo okuvuganya ku kifo kye kimu n'abantu abalala 2 okuli Francis Sserwadda owa NRM ne Ponsiano Kiwanuka owa NUP agambibwa okuba nga yeyawangula.
Okusinziira ku mukyala we wa Ssekalegga, Scovia Nabukenya agamba nti basoose kulumbibwa misana nga abaana beebaliwo bokka ewaka era ne babaako ebintu byebakulise nabyo wabula mu kiro ate ne bakomawo n'ekyadiridde kwabadde kwokya mmotoka ya bba ekika kya Datsun nnamba UDN 822 kwossa okwaasa endabirwamu z'enyumba.

Emmotoka eyayokeddwa
Poliisi ya Nyendo nga ekulembeddwamu omuddumizi waayo (DPC) John Kwesiga etuuse mu kifo era navumirira ekikolwa kino nagumya abatuuze nga okunoonyerezza bwekutandikiddewo okuzuula ddala ekituufu ekiri emabega w'obulumbaganyi.