Amawulire

Ssemaka eyasazeeko mukazi we obulago omulambo n'agusibira mu nju poliisi emuyigga!

Poliisi e Mityana eyigga omusajja agambibwa okusala  mukazi we obulago n'amutta, n'aleka ng'omulambo gwe agusibidde mu nnyumba.

Ssemaka eyasazeeko mukazi we obulago omulambo n'agusibira mu nju poliisi emuyigga!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Mityana eyigga omusajja agambibwa okusala  mukazi we obulago n'amutta, n'aleka ng'omulambo gwe agusibidde mu nnyumba.

Bibadde mu Mizigo B cell North ward mu Busimbi Division e Mityana, omulambo gwa Nnalongo Patience Ainembabazi 33 bwe guzuuliddwa mu nnyumba mwe gumaze ennaku ssatu. 

Ssalongo Mukiga y'ayiggibwa nga kigambibwa nti yafumise mukazi we ebiso ebiwerako n'okukusala obulago n'amutta n'abulawo oluvannyuma lw'okufuna obutakaanya. 

Abatuuze be basoose okuwulira ekivundu ne batemya ku ssentebe wa LC1 Ronald Kizito  naye nayita poliisi emenye n'eguzuula mu ddiiro nga gujjudde ebiwundu ebiwerako. 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti ekiso ekyakozeseddwa bakizudde ne bafuna n'ebintu ebiyinza okubayamba ng'obujulizi mu musango. Omuyiggo gwa bba, gugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Bulago
Poliisi
Ssemaka
Kusala