Abasuubuzi babiri batwaliddwa mu ddwaliro e Jinja oluvannyuma lw'okufuna ebisago mu muliro ogukutte akatale ne gusaanyawo ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw'ensimbi.
Ebisago babifunidde mu muliro ogukutte akatale ka Nile market Upper Njeru mu Njeru central Division mu Buikwe mu kiro ekikeesezza leero ebintu by'abasuubuzi ebiwerako ne bisaanawo.
Abazinyamooto okuva e Jinja mu GM sugar fire brigade ne Nytil fire fighters, basobodde okuyamba ku basuubuzi ne bazikiriza omuliro.
Kigambibwa nti abamu ku basuubuzi nabo basobodde okwekolamu omulimu ne bagezaako okutaasa ebimu ku bintu byabwe era wano ababiri webafunidde ebisago ne batwalibwa mu ddwaaliro.
Omuduumizi wa poliisi mu Ssezzibwa, Jaffar Magyezi agambye nti amannya g'abantu abalumiziddwa tegannategeerekeka so nga n'ebintu ebiwerako, bitokomokedde mu muliro guno