Ssaabasajja Kabaka akungubagidde omugenzi Paul Kawanga Semogerere

Obubaka bw’okusaalira yabwolekezza Nnamwandu Dr.Germina Namatovu Ssemogerere nga bwatuusiddwa eri abakungubazi mu kuziika okwabadde ku mutala Nattale e Bufulu-Nkumba mu disitulikiti y’e Wakiso-Busiro ku lwa mmande November 21,2022,Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga era wansi bwebulambulukufu bwabwo;-

Ssaabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision
SSAABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atenderezza omugenzi Dr.Paul Kawanga Ssemogerere olw’okubeera mwoyo gwa ggwanga atawunyikamu eyayagala ennyo eggwanga ly’e Buganda n’ensi ye Uganda obuteebalira.
 
Obubaka bw’okusaalira yabwolekezza Nnamwandu Dr.Germina Namatovu Ssemogerere nga bwatuusiddwa eri abakungubazi mu kuziika okwabadde ku mutala Nattale e Bufulu-Nkumba mu disitulikiti y’e Wakiso-Busiro ku lwa mmande November 21,2022,Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga era wansi bwebulambulukufu bwabwo;-
 
Munnaffe amawulire ag’okufa okw’omwamiwo omwagalwa era Mukwano gwaffe owaddala Dr. Paul Kawanga Ssemogerere gaatukubye encukwe. Kitalo nnyo ddala.
 
Tukusasidde olw’okufiirwa omwamiwo bwemukuumaganye ekiseera ekiwanvu era tusasira ne bamulekwa Kalooli (Ssemogerere) ne baganda be olw’okufiirwa Taata.
 Katikkiro ng'asoma obubaka bwa Kabaka

Katikkiro ng'asoma obubaka bwa Kabaka

Mu ngeri y’emu tutuusa okusaasira kwaffe eri mutoowe John Baptist Kawanga ne Mutabani we Ssaabepisikopi Paul Ssemogerere. Mu ngeri ey’enjawulo tukubagiza Omutaka Ggere n’aboolugave bonna olw’okufiirwa omuntu abadde empagi luwaga mu kika.
 
Tubeegattako wamu n’eggwanga lyonna okukungbagira omukulembeze abadde ow’enkizo ennyo mu ggwanga lyaffe.Obuntubulamu bwe,obwetowaze bwe,okulumirirwa obulamu bw’abantu n’okuwa abantu ekitiibwa binamujjukirwangako bulijjo.
 
Tewali kubuusabuusa nti ebyafaayo by’ensi yaffe byandibadde byanjawulo nnyo singa obukulembeze bwatambulira ku musingi gweyatema okuviira ddala ku ntandikwa. Omugenzi abeere kyakulabirako eri abakulembeze abalala.
 
Omugenzi y’omu ku baalwanirira mu bigambo ne mu bikolwa okulaba ng’Obwakabaka buddawo okusobozesa baffe okuzzaawo emirembe n’okwekulakulanya nga bayita mu mpisa n’ennono zaabwe.
Katikkiro Mayiga ng'aziika Paul Kawanga Semogerere

Katikkiro Mayiga ng'aziika Paul Kawanga Semogerere

 
 Olw’emirimu egyo gyeyakola twamusiima mu butongole netumukwasa ejjinja ery’omuwendo. Twasigala tumwebuuzaako ku nsonga nnyingi era tumusaaliddwa nnyo.
 
Twebaza nnyo omukyala Germain Namatovu Ssemogerere olw’okuwagira omwami we mu mbeera zonna zebayiseemu ekimusobozeseza okubeera omukulembeze eyeegombesa.
 
 Twebaza Katonda olw’obulamu bwe n’emirimu emirungi gyeyamukozesa. Tusaba mukama abagumye mu buyinike n’omugenzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe.
 
Ronald Muwenda Mutebi I