Somalia y'ekyasinze okulya enguzi mu mawanga agali mu mukago gwa East African Community

Somalia y'ekyasinze okulya enguzi mu mawanga agali mu mukago gwa East African Community

Somalia y'ekyasinze okulya enguzi mu mawanga agali mu mukago gwa East African Community
By Majorine Sharon Nabasirye
Journalists @New Vision

Somalia enokoddwaayo nga  eggwanga erikyasinze okubaamu obuli bw’enguzi mu mawanga agali mu mukago gwa  East Africa (East African Community).

Bino bibadde mu lukungaana lw'abannamawulire olutuuzidwa ku Ministers Village e Ntinda .

Wano ekitongole kya Transparency International Uganda kitongooza alipoota ey'omwaka 2023 ekwata ku buli bw'enguzi mu mawanga 180 gye baakoze mu kunoonyereza mu nsi yonna.

Peter Wandera akulira ekitongole kino mu alipoota gy’asomye alaze nga eggwanga lya Somalia bwe lirina ebitundu 11% n’eriddirirwa South Sudan n’ebitundu 13%  DRC ne Burundi n’ebitundu 20%  , Tanzania 40%, Kenya 31%, Rwanda 53% nga Uganda erina ebitundu 26% .

Mu mawanga agakoze obulungi Denmark y'ekyasinze n’ebitundu 90% n’edirirwa Finland ne New Zealand n’ebitundu 87% ne 85% buli mwaka .