SIPIIKA wa palamenti Anita Among yegaanye ebyokusaba amabaati okuva mu ofiisi ya katikkiro wa Uganda ne mu minisitule evunanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja.
Among okwogera bino abadde awa obubaka bwe mu lutuula lwa palamenti olwa leero ne yennyamira olw’abantu okwezza amabaati agalina okugenda e Karamoja okuyambako abaayo abasula mu nyumba okutali mabaati nga n’abamu tebalina webasula batambula butambuzi.
Mu kadde kano akakiiko ka palamenti akalondoola ensonga z’ofiisi ya pulezidenti nako kali mukunonyereza ku nsonga yemu.
Agambye nti waliwo amabaati agatwalibwa mu disitulikiti y’e Bukedea ge bamugambako wabula nga gatwalibwayo ye nga tagasabyeko era nalagira nti gagende mu masomero ga gavumenti kwosa n’amalwaliro.
Among agambye nti tewali muntu agenda kukangavulwa nga tamanyi ku nsonga z’amabaati gano oba nga baweebwa mu bukyamu, eyagabawa yabeera akangavvulwa yetikke omuguggu gwe.
Ono yegase ku ba minisita abalala nga Kadaga ne Matia Kasaija abeganye ekyokusaba amabaati okuva mu ofiisi ya katikkiro wa Uganda.