SSABADINKONI w’e Ntebe Ven Emmanuel Kenneth Ssewannyana alonze Rev Samuel Muwonge okukulira ekitongole ekibuulizi ky’enjiri mu busabadinkoni wamu ne mu masomero mu Ntebe.
Rev Samuel Muwonge yeyali akulira okubuulira enjiri mu bulabirizi bw’e Namirembe okumala emyaka 10 era mu January w’omwaka guno, yasindikiddwa ku St Stephens Church e Kitende okubeera omusumba.

Abantu nga bali mu lukung'aana lw'enjiri
Muwonge yategeezezza nga bweyamaze edda okufuna abantu 16 bagenda okutambula nabo mu kubuulira enjiri naddala mu masomero era okuva lweyafunye ekifo kino kuntandikwa y’omwezi, amasomero 12 amaze okugatukamu..
“Abasomesa 20 n’abaana abasukka mu 1000 baamaze dda okukkiriza Yesu okutwala obulamu bwabwe era nnebaza abakulu b’amasomero olw’okuwaayo omuwendo okulaba ng’enjiri egenda mu maaso.” Muwonge bweyategezezza.
Yayongeddeko nti wakati mu kubuulira enjiri, besigamye ku kitabo ky’ Engero 18:21 era ng’asuubira nti amasomero agasukka mu 70 gagendamu omwezi guno, bangi ku baana bagenda kukyusa obulamu bwabwe bade eri Mukama.
Muwonge era yategeezezza ng’obussabadinkoni bwe bwamuwa obuyinza okukola enteekateeka y’ekisiibo abakristaayo mubusabadinkoni bw’e Ntebe gyebagenda okugoberera mubiro by’ekisiibo.

Abantu nga bali mu lukung'aana lw'enjiri
Enteekateeka eyakoleddwa ya wiik 6 nga mulimu esaala n’okusaba kw’ewaka, mu kkanisa, nemu zooni ez’enjawulo nga mulimu okuzaamu essuubi eri abantu abalina okusomoozebwa okw’enjawulo.
Muwonge yategezezza nti okubuulira enjiri kitundu ku bulamu bwe era nagamba nti omulimu gwakoze okukyusa obulamu bw’abantu mubulabirizi, agenda kugwongerako enjiri yeyongere okubukala.