ABAKULIRA ekibiina kya UNATU ekitaba abasomesa ba masomo ga ‘Arts’ balaze okutya olw’engeri abasomesa gyebatandise okunkumukamu nga bafa mu ngeri etategerekeka.
Omwaka oguwedde, ssaabawandiisi wa UNATU Filbert Baguma, yategeezezza nti abasomesa ba mmemba ba UNATU 535 be baafa nga ku bo 412 basajja, 123 bakyala.
Babadde mu kutongoza kkampeyini( Support Education, increase funding) y’okujjukizza Gavumenti okwongera amaanyi mu kuwagira eby’enjigiriza nga ebyongeramu ssente.
Ekyabasomesa abatandise okufa akitadde ku bunkenke abasomesa bwebakoleramu awatali musaala gwegasa ne bakomekkereza nga bafunye situleesi ezibaleetera endwadde.
Ekirala kyeyanokoddeyo bwebuvunaanyizibwa obubayinga mu maka olw’obutaba na ssente .
Abamu yayongeddeko nti basazeewo okuva mu busomesa nga n’abasaba okuwummula omulimu gw’obusomesa ng’emyaka teginnatuuka be bangi.
Singa eby’ebjigiriza tebiteekebwamu ssente z’egasa n’omwenkano negubaawo mu by’ensasula Baguma yalaze nti gyebujja eggwanga lyandibulwa abasomesa .
Mu kunoonyereza okwakoleddwa dayirekita w’ekibiina ky’ebyenjigiriza ekya Education International mu Africa , Dr. Dennis Sinyolo, Uganda yeemu ku ezo ensi ezikola obubi mu by’enjigiriza.
Yajulizza lipoota y’ekibiina ky’amawanga amagatte (UNESCO )eyalaze nti Uganda yemu ku mawanga ga Afrika agakyasinze okusala ssente z’ebyenjigiriza okuva ku bitundu 13 n’obutundu 6 nga mu mwaka gw’ebyensimbi 2024/2025 zadda ku bitundu 6 n’obutundu 6.
Amawanga agalidde mugannaabwe akendo mu kutumbula eby’enjigiriza yagambye gakulembeddwa Sierraleon, Namibia, Senegal, Botswana, Morocco negaddirirwa Angola , Nigeria, Uganda nesembayo.
Ekya Gavumenti okugamba nti yasaawo okusoma okwobwerere yagambye tekikola makulu nga abasomesa tebafiiriddwako mu nsonga y’omusaala n’okuweebwa ebikozesebwa ebimala.
Omutindo gw’ebyenjigiriza muggwanga yagambye nti gusinziira ku mutindo gwa basomesa nabwekityo nga bagwana okufiibwako kyenkanyi okufulumya abayizi ab’omutindo.