Amawulire

RDC ayimirizza abazimba n’okusenda ebibanja by’abatuuze e Mutungo

RDC wa Makindye Ssaabagabo, Peter Simon Mawerere, ayimirizza mbagirawo bonna abazimba n’okusenda ebibanja by’abatuuze e Mutungo ku luguudo lwa Munyonyo Expressway awali enkaayana.

Abatuuze b’e Mutungo bwe baali bava mu kkooti Enkulu ku Twed Towers omwezi oguwedde ku nsonga z’ettaka lyabwe eryatwalibwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

RDC wa Makindye Ssaabagabo, Peter Simon Mawerere, ayimirizza mbagirawo bonna abazimba n’okusenda ebibanja by’abatuuze e Mutungo ku luguudo lwa Munyonyo Expressway awali enkaayana.

Awandiikidde Town Clerk ebbaluwa emulagira okuyimiriza buli ekikolebwa ku ttaka okutuusa ng’ensonga eziri mu kkooti zigonjoddwa. Abatuuze abasoba mu 100, be balina enkaayana ku ttaka lino eriweza yiika 41 eriri ku kyalo Kakola e Mutungo, lye balumiriza babbulooka okukozesa olukujjukujju nga beerimbise
mu linnya lya Dr. Nganwa gwe baasooka okuwerennemba naye mu kkooti, bwe baali bazimba oluguudo, ng’ayagala okwezza ebibanja byabwe ne bamuwangula, naye babbulooka ne bagenda mu maaso n’okutunda, nga kati abaagula batandise okuzimbawo.
Abatuuze era batutte munisipaali (Town Council) ya Makindye - Ssaabagabo mu kkooti,
olw’okukkiriza abantu okuzimba ku ttaka lyabwe eririko n’ekiragiro
kya kkooti ekikugira okubaako ekikolebwako, ne balumiriza ne ssentebe w’ekitundu okwenyigira mu mivuyo gy’okutunda. RDC agenze ku ttaka n’aba munisipaali abaakulembeddwa Physical Planner Matia Lukyamuzi Bisirikirwa, n’akuba olukiiko lw’abatuuze nessentebe waabwe George Nswa, n’amulagira obutaddamu kukola
kiwandiiko kyonna ku ttaka lino okutuusa nga kkooti esazeewo

Tags: