Pulezident Museveni asabye bannayuganda basiime gavumenti ya NRM gyeggye eggwanga lyaffe kubanga baagenda okujja mu buyinza baasanga lyafuuka lya butabanguko na ddukadduka.
Bannakibiina kya NRM nga basala cake y'amazaalibwa ga Pulezidenti Museveni
'Eggwanga lyali lyaggwa dda nga lyafuuka lya butabanguko, obubbi n'e bikolobeero ebitagambika kyokka NRM bweyakwata obuyinza kati ebyo byafukka lufummo' Bwatyo Museveni bweyategezezza mu bubaka bwe bweyatisse omumyuka we Jessica Alupo ku mazaalibwe ge ag'entaka 82.
Alupo yagambye nti Pulezidenti Museveni yabadde wakubeerawo ku mazaalibwa ge agamutegekeddwa e Kololo ng'omugenyi omukulu wabula yalemereddwa ku ssaawa envanyuma olw'obuvunaanyizibwa bw'alina kyokka n'amutuma okubeerawo nga bannayuganda bamujagulizaako ne banna- NRM okutwaliza awamu okwetoloola eggwanga.
