PULEZIDENTI Yoweri Museveni alagidde minisita avunaanyizibwa ku byentambula n’enguudo, Gen. Edward Katumba Wamala okulonda eyali akulira kkampuni y’ennyonyi eya Ethiopian Airlines, Girma Wake akulire ekitongole kya Uganda Airlines era abeere omukugu eyeebuuzibwako.
Yagambye nti kino akikoze okugonjoola ekizibu ky’obunafu mu nzirukanya y’emirimu gy’ekitongole kino. Mu kiwandiiko kye yaweerezza Gen.Katumba Wamala, yalagidde abadde akulira ekitongole kino, Jennifer Bamuturaki alekulire.
Wake 82, asuubirwa okukolagana n’olukiiko olufuzi ng’akulira ekitongole kino ow’ekiseera okutuusa mu July, Pulezidenti lw’anaalonda akulira ekitongole kino omujjuvu.
Nga February 3 2026, minisita omubeezi ow’ebyentambula, Fred Byamukama yategeeza nti, Bamuturaki mu July w’omwaka oguwedde yaggyibwako obuvunaanyizibwa ku biragiro bya Pulezidenti Museveni oluvannyuma lw’olukiiko olufuzi okuzuula ebirumira mu ngeri gye yali addukanyaamu emirimu gye.