Poliisi y'ebidduka ewadde abavuga ebimotoka ebinene amagezi

OMWOGEZI  wa Poliisi ye bidduka SP Michael Kananura alabudde abagoba be mottoka ennene okubeera ne reflector ng'amateeka bwegalambika.

Omwogezi wa Poliisi y'ebidduka ng'annyonnyola
By Sulaiman Mutebi
Journalists @New Vision

OMWOGEZI  wa Poliisi ye bidduka SP Michael Kananura alabudde abagoba be mottoka ennene okubeera ne reflector ng'amateeka bwegalambika.

Bino abyogeredde mu lukungana lwa banamawuliire olutude ku kitebe Kya poliisi e Naguru.

Kananura ayogedde ku bubejje obugudewo ne bufiramu abantu.  Abantu 4 bakosedwa omu n'afiirawo e Katovu mu gomboloola ye Ngogwe ku lugudo lwe Katosi kigambibwa nti bassi ya Gate way Uax 354 N yabadde egenda soroti ne yabika omupiira neegwa. Abaakosedwa batwaldwa mu dwaliro e Nkokonjeru.  Asabye abantu okwekeneenya embeera ye mottoka zaabwe.  Bino abyogedde alambula ku kakembenje akakolebwa emottoka ya Minisita wa Baana n'abavubuuka akavirideko abantu 3 okufa.