Ekitongole kya Poliisi ekya ttulafiki olutalo lw'okumalawo obubenje ku nguudo erututte mu masomero era nga etandikidde mu bitundu by'e Masaka, Mpigi, Butambala, ne Gomba.
Omwogezi wa ttulafiki mu ggwanga, Michael Kananura ategeezezza nti bamaze ennaku ttaano nga basomesa abayizi obulabe obuli mu kuttikka abaana abangi nga bagenda oba nga bava ku masomero.
Abasirikale b'ebidduka nga basomesa abayizi