Abantu 35 bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa e Kajjansi ne Kyengera okufuuza abakyamu.

Abamu ku bavubuka be baakutte.
Ekikwekweto ekisoose, 24 baggyiddwa e Nakigalala A ne B, Kitende A ne KKB cells e Kajjansi mu Wakiso.

Kamya gwe baakutte ng'atambuza embizzi mu kiro.
Mu kikwekweto kye kimu, bakutte omusajja ategeerekese nga Kamya ng'atambuza embizzi bbiri ekiro ezirowoozebwa okuba enzibe.
E Kyengera, e Kasenge, Kazinga ne Kinaawa bayodde 11 era ne bazuula ebiragalalagala , ebyuma ebimenya amayumba n'ebigambibwa okuba ebibbe. Bonna 35 bakuumirwa ku poliisi e Kajjansi, Bwebajja ne Kyengera nga baabasunsulamu.