POLIISI eyigga omukazi agambibwa okuggyamu olubuto lw'omwana omuwala, n'amusuula ku lutindo e Nabuyonga mu kibuga e Mbale.
Kirowoozebwa nti omwana ono yabadde mu myezi nga munaana era nga kigambibwa nti akasukiddwa ku lutindo lw'omugga Nabuyonga era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika agambye nti basobodde okukung’aanya ebitundu by'omubiri ne babyongerayo mu ddwaliro e Mbale era bali ku muyiggo okuzuula ali amabega w'ekikolwa kino.