POLIISI e Mukono, ekyagenda mu maaso n'okuyigga ddereeva wa bbaasi ya Friendship coach , agambibwa okuvugisa ekimama n'avaako akabenje omufiiridde omuntu omu, n'okulumya abayizi abawerako.
Akabenje, kabaddewo leero kumakya, bbaasi nnamba UAU 123 Q ebadde etisse abayizi nga 100 ab'essomero lya Mwebaza High School e Bakka Kakiri , bw'etomedde eggaali y'omukka e Namumira ku luguudo oluva e Mukono okudda e Katosi.
(Akatambi akalaga engeri abantu gye baagezezzaako okutaasa abayizi abaafunye akabenje)
Mukyala w'akulira essomero eryo, afiiriddewo ate abayizi abalala n'abasomesa , ne bafuna ebisago eby'amaanyi era nga bagenda mu maaso n'okufuna obujjanjabi e Mukono ne mu malwaliro amalala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti ddereeva alemereddwa okugoberera obubonero bw’oku nguudo , era ng'abadde alina okusooka okuyimirira eggaali y’omukka emale okuyitawo nti naye olw'endiima , takikoze.
Agasseeko nti oluvannyuma lw'akabenje kano, yeemuludde n'adduka era nga bamunoonya abuuzibwe akana n'akattaano. Bbaasi ebadde epangisiddwa ab'essomero okutwala abayizi okulambula e Jinja.