POLIISI eri mu kunoonyereza ku muyizi agambibwa okuva ku kizimbe waggulu n'agwa wansi n'afa.
Bino , kigambibwa nti byabadde ku ssomero lya St. Julian High School e Gayaza, omwana, Allena Twinomugisha abadde asoma S5 bwe yagudde wansi n'afa ng'ava ku mwaliiro kw’abadde asula.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bagenda mu maaso n'okunoonyereza ku nfa y'omwana ono.