ABANTU 65 abagambibwa okubeera ab’omutawaana mu kunyaga, okutulugunya n'okwenyigira mu bikolwa ebikyamu , bayooleddwa, mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi e Kabalagala mu Kampala.
Kiyindidde mu bitundu okuli Namugongo, Kannyogoga, Kisugu, Kasanvu, Kansanga mu Makindye munisipaali era nga bonna bakuumirwa ku poliisi e Kabalagala.
Okukwatibwa kw'abantu bano be basanze n'ebigambibwa okuba enjaga n'ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya, kiddiridde okwemulugunya kw'abatuuze ku bumenyi bw'amateeka obubadde bususse.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti bagenda mu maaso n'okubasunsulamu , abasigaddewo batwalibwe mu mbuga z'amateeka ku misango egy'enjawulo.