POLIISI y'e Ngogwe mu Buikwe, ekutte abantu bataano okuli ne bannansi Abachina, ku bigambibwa nti baakubye omuntu ne bamutta.
Bino, bibadde mu kirombe ky'amayinja ku kyalo Mawoloba mu muluka gw'e Kiringo mu ggombolola y'e Ngogwe , Patrick Senkungu 35, bwe bamukubye oluvannyuma ne bamuteeka mu mmotoka ekika kya Prado nnamba UAT 928E bamutwala ku poliisi kyokka n'afiira mu kkubo.
Kitegeezeddwa nti ddereeva w'emmotoka eno, agisuddewo n'omulambo n'abulawo, era nga poliisi okuva e Ngogwe y'egiggyewo n'omulambo ne bagutwala mu ddwaaliro e Kawolo wakati w'abantu okwekalakaasa nga baagala okugikumako omuliro.
Omugenzi, abadde mutuuze w'e Kikakanya mu muluka gw'e Namulesa era ng'atunda mafuta. Kitegeezeddwa nti y'andiba nga yabadde agezaako okubba amafuta okuva mu kirombe kino, kyokka nga tasangiddwa na bizibiti.
Ensonda mu poliisi, zitegeezezza nti Abachina okuli Zhanga Jiancai, Yongxhong Lou, Zhou Shenzhen, Dong Yueming ne Lou Xiangi, be bamu ku bali amabega w'okutuusa obuvune ku mugenzi era ng'okubuuliriza kukolebwa