Amawulire

Poliisi e Kassanda, eyigga omusawo agambibwa okuggyamu omuwala ow'emyaka 18 olubuto n'afa

Poliisi e Kassanda, eyigga omusawo agambibwa okuggyamu omuwala ow'emyaka 18 olubuto n'afa

Poliisi e Kassanda, eyigga omusawo agambibwa okuggyamu omuwala ow'emyaka 18 olubuto n'afa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Kassanda, eyigga omusawo agambibwa okuggyamu omuwala ow'emyaka 18 olubuto n'afa. 

Mary Babirye, ng'abadde abeera Ntonyeze cell mu kabuga k'e Bukuya mu diaitulikiti y'e Kassanda, y'afudde, oluvannyuma lw'ebigambibwa nti omusawo amanyiddwa nga Gerald, abadde amuyamba okumuggyamu olubuto. 

Babirye, abadde akolera mu saloon ya Maama Cyrus e Bukuya, kigambibwa nti olubuto alugiddemu mu Musawo Gerald Clinic e Bukuya nti kyokka n'avaamu omusaayi mungi. 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti nnyina Specioza Nakigudde ne banne ababadde bamunoonya, webatuukidde mu kalwaliro ng'omuwala ali bubi nti era babadde bamwongerayo mu ddwaaliro eddala, n'afa. 

Agasseeko nti omuyiggo gw'omusawo ono, eyemuludde n'abulawo, gugenda mu maaso okuzuula ekituufu. 

Tags: