POOKINO Jude Muleke yeebazizza abavubuka Bannakibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange olw'okukozesa obulungi omutimbagano okutumbula enkulakulana.
Bannakibiina kino beesonzeemu ssente ezaaweredde ddala obukadde busatu okuyingiza amasanyalaze mu ssomero lya Pookino Nursery School e Masaka-Buddu agabaggye mu kizikizza ekibadde kibakalubiriza mu mirimu gyaabwe Kati Mwaka mulamba okuva lweryatandika omwaka oguwedde.
Omukolo gw'okukwasa essomero lino, Pulojekiti eno eyabadde emaliriziddwa gwabaddewo ku Lwokutaano February 27,2026 ku kitebe ky'essaza ly'e Buddu mu kibuga Masaka ng'obubaka bwa Pookino bwatuusiddwa Omumyuka we Owookusatu, Dick Muwanga.
"Nga muyita ku mutimbagano abantu gwebasinga okukozesa obubi ate mwe nemuguggyamu enkulakulana ezimba Obuganda," Muwanga bweyatuusizza obubaka bwa Pookino.
Muwanga yagambye nti kino ekikoleddwa kyakuwa Kabaka essanyu olw'okuba batadde mu nkola ekiragiro kye eky'omulembe gwe okuguwa abavubuka Okuzimba Obuganda, bakitadde mu nkola.
Ssentebe w'ekibiina kino Buganda Yiyo Buganda Yange, Dan Munaawa yategezeezza nga bwebaalaba obwetaavu bw'essomero ly'Obwakabaka lino nebasalawo okuyita mu nkola ya Bulungibwansi okukyusa embeera yaalyo.
Munaawa yagambye nti kaweefube w'okunoonya abatwalidde emyezi esatu bwatyo neyeebaza bannakibiina bonna abaliko kyebatodde era nti Kati obuufu bagenda kubwolekeza essaza eddala okukolayo omulimu gwa Bulungibwansi.
Gorreti Namugumya nga ye Mukulu w'essomero lino asanyukidde obuyambi buno obubawereddwa Bannakibiina kino n'alaga essuubi nti eby'enjigiriza bigenda kulongooka.
Ye Frida Namuleme ku lw'abazadde, agambye nti kino ekikoleddwa kabonero Kalungi era neyeebazza Bannakibiina olw'ebintu ebikozesebwa mu kusoma byebagabidde abaana baabwe nga bigenda kubayamba okusoma obulungi.
Pookino Nursery School yatandikibwa omwaka oguwedde okutuukirizza ekiruubirirwa ky'Obwakabkaa okusitula omutindo gw'abaana abato mu by'ensoma era kati lirimu abaana abayizi 50, abasomesa basatu, omufumbi omu n'omukulu w'essomero