PAASITA Jackson Ssenyonga owa Christian Life church e Makerere Kavule akoowoodde Bannayuganda okuyigira ku mazuukira ga Yesu okuyita mu kusoomoozebwa kwe bayitamu.
Pasiita Ssenyonga okwogera bino asinzidde mu kusaba kwa paaasika n'akuutira abakkiriza obutaggwaamu maanyi na kwekubagiza mu bye bakola wabula balowooze okukola eby’amaanyi ebinaabawanguza nga banywerera ku Yesu eyazuukira.
Ssenyonga era yasabye wabeewo okwezza obuggya, okukkaanya, obumu okusonyiwagana n'obwenkanya eri Bannayuganda bonna awatali kyekubirira mu kukwasisa amateeka n'ategeeza nga bannayuganda bonna bwe basaana okuyisibwa ekyenkanyi okusobola okumalawo ebisoomooza Bannayuganda olw’enkulaakulana ey’awamu.
Ssenyonga yategeezeza nti Bannayuganda basaanye okulabira ku Yesu kye yayitamu wabula n'atuukiriza ekiruubirirwa ekinene eky'okununula omwana w'omuntu nga nabo basaanye okuyiga okugumira okusoomoozebwa kwe basanga balwanirire okutuuka ku buwanguzi bwe baluubirira.
Ssenyonga era yennyamidde olw'ebikolwa ebyekko mu ggwanga naddala ettemu n'ategeeza nti okuzuukira kutegeeza bulamu buggya n'asaba bannayuganda okudda eri Katonda.
Yategeezezza nti ssinga Bannayuganda bongerwamu amaanyi okubaako bye bakola nga balina emirimu kwe bamalira obudde bwabwe kyakukendeeza obumenyi bw'amateeeka.