Amawulire

Paasita bamukutte lwa kuyisaamu omukkiriza empi ng'amulumiriza okubulankanya n'okulya ekiweebwayo

Omusumba w'ekkanisa y'Abalokole e Rukungiri, akwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti yakuba n'alumya omu ku bakozi be.

Paasita bamukutte lwa kuyisaamu omukkiriza empi ng'amulumiriza okubulankanya n'okulya ekiweebwayo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omusumba w'ekkanisa y'Abalokole e Rukungiri, akwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti yakuba n'alumya omu ku bakozi be.

Pastor Felix Ayebare owa Kyarusongyera Anointed Church e Bwanga mu ggombolola y'e Nyarushanje e Rukungiri, y'akwatiddwa ku by'okulumya kkalaani w’ekkanisa (Church Secretary) Joan Byomuhangi 34.

Kigambibwa nti bino byaliwo wiiki ewedde ku Lwomukaaga omusumba bwe yasikambulako Joan Ssente ezaali mu kasero nga n'ekyaddirira kumukuba kikonde.

Kigambibwa nti era mu kanyoolagano ako, Omusumba yakasuka essimu ya Joan n'eyatika ng'amulumiriza okulya Ssente z'ekannisa.

Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime agambye nti eddembe ly'okusinza, terizingiramu bulyake na bukumpanya wadde okulumya omuntu era okunoonyereza, kugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Paasita
Kulumya
Kkalaani
RUkungiri