WABADDEWO akasattiro, omuwala ow'emyaka 25 bw'asangiddwa mu kinaabiro ky'ennyumba ye, ng'afudde.
Bibadde ku kyalo Nyanza North mu Mugiti City mu disitulikiti y'e Budaka, omuwala ow'abaana ababiri, Mary Nakhumitsa 25 , bwe bamusanze ng'afudde ng'abaana be abato, bayaayaana.
Kigambibwa nti bba Siraje Muyinda abadde ava e Kampala, kimubuseeko okusanga mukazi we nga mufu ensonga ne bazitegeeza poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu Bukedi North, Wilfred Kyempasa agambye nti omulambo oluvannyuma , guweereddwa abeng’anda okugenda okuziika ng'okubuuliriza kukolebwa.