Omwala gw’e Nalukolongo ogwaweebwa ssente emyaka 12 egiyise gukyalemye okutandikibwako

SSENTE z’okuzimba omwala gwa Nalukolongo Channel ogusinga obunene mu Lubaga South, zaaweebwayo bbanka y’ensi yonna mu 2013 kyokka kati giweze emyaka 12 teguzimbwanga.

Omwala gwa Nalukolongo Channel e Nateete ng’enkuba yaakakya. Ate wansi abantu lwe baakung’aana okunoonya abaali batwaliddwa amazzi.
NewVision Reporter
@NewVision

SSENTE z’okuzimba omwala gwa Nalukolongo Channel ogusinga obunene mu Lubaga South, zaaweebwayo bbanka y’ensi yonna mu 2013 kyokka kati giweze emyaka 12 teguzimbwanga.
Omwala guno gwe gusinga obunene n’obuwanvu mu Lubaga South n’emyala emitono mu kitundu giyiwa mu guno, naye guli mu mbeera mbi kuba si muzimbe wadde nga ssente zizze zibeerawo ekisibye amataba mu kitundu. Guyita mu miruka okuli; Ndeeba,
Kabowa, Nalukolongo, Nateete ne gugenda guyiwa mu kitoogo kya Lubigi e Busega.
Ensibuko yaagwo enkulu eva ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba nga guno gwe gutera okuvaako amataba mu kitundu olw’ensonga ez’enjawulo. Mulimu okubeera nga si muzimbe, gukozesebwa bubi omuli; abantu okuyiwamu kasasiro, okuyiwamu kazambi ne kivaako amazzi obutatambula bulungi olwo ne ganjaala mu batuuze.
Olw’obukulu bw’omwala guno mu Lubaga, bbanka y’ensi yonna eya World Bank  aweereza ssente  u 2013, okuguzimba, okuguwanvuya n’okugugaziya gusobole
okutwala amazzi amangi.
Eyali Town Clerk w’e Lubaga mu 2013, Abel Bimbona, yategeeza nga bbanka y’ensi yonna bwe yawaayo obukadde bwa doola 175 okuzimba omwala guno nga gavumenti ya Uganda ye yalina okuliyirira abantu abasoba mu 3,000 abaalina amayumba okuliraana omwala we gulina okuyita ebiseera ebyo.
Okusinziira ku nteekateeka bwe yali, gw’alina okutandika okuzimbibwa mu January wa 2014, naye gavumenti yalemererwa okuliyirira abantu baveeko, pulojekiti n’eyimirira bokutuusa leero emyakam 12 teguzimbwanga.  KCCA yakolako enteekateeka y’okubalirira abantu ab’okuliyirira guzimbibwe, naye abaakola omulimu guno kyategeezebwa nti, baaduumula ssente ezitaaliwo. Waaliwo ebitundu ebimu
 g’abantu nabo baagala omwala gukolebwe ne bawaayo ettaka ku bwereere, ate ebimu nga tewali bantu na mayumba, kyokka nabyo ne babibalamu ssente empitirivu, ne bakola embalirira ng’eri waggulu, pulojekiti n’eyimirira. Pulojekiti y’oluguudo lwa Mpigi Express y’ekyasibye okuzimba Nalukolongo Channel Ismail Ddamba Kisuze, Ssentebe wa kkooti ya munisipaali y’e Lubaga, eyaliko kansala wa Lubaga III mu KCCA agamba; Ababalirizi abaasembayo tebaakola lipoota kumanya ssente mmeka ezeetaagisa, ate eby’okuzimba omwala guno kwegattibwako pulojekiti endala
ey’okuzimba oluguudo lwa Mpigi = Express, oluva e Kibuye okugenda e Mpigi olw’okuyita waggulu (fly over). Nalwo lwalina ekitundu we lwegattira n’omwala, nga ssente z’okuliyirira abantu zirina okugabanibwa ebitongole bibiri; ekya KCCA n’eky’enguudo ekyali ekya UNRA, nabyo tebyasalawo ku ani alina kuliyirira ani. Omubaka wa Lubaga South mu palamenti, Aloysius Mukasa  agamba, ebikolobero
bingi ku mwalaguno omuli okutemulirako abantu ne basuulamuemirambo n’amataba agattiramu
abantu, ate kati gwafuuka ensibuko
y’endwadde nga kkolera
SSENTE Z’OKUGUZIMBA WEEZIRI
Meeya wa munisipaali y’e Lubaga, Zacchy Mawula Mberaze yategeeezza nti, ssente ezikola omwala gwa Nalukolongo Channel baazifunye, nga kati ekisigalidde buvunaanyizibwa bwe ne bannabyabufuzi abalala okumatiza abantu abali okumpi n’omwala okuwaayo ebitundu ebyetaagisa okugugaziya ku bwereere,
 ubanga ssente z’okuliyirira teziriiwo.
Agamba nti, ssente ezizimba omwala guno zizzenga zikyusibwa ne ziteekebwa ku birala
olw’obutabaawo ssente ziriyirira bantu kukolebwa, nga kati baagala bagukole nga bwe bakoze pulojekiti y’enguudo okuli Ssuuna Road, Wamala n’endala.
Omwogezi wa KCCA, Daniel NuweAbine agambye nti, Nalukolongo Channel guli ku mwanjo ku birina okukolebwa, ng’ekizibu kyokka ekiriwo kya kuliyirira bantu, n’asaba abantu okukwasiza awamu nabo baweeyo ebyetaagisa ku bwereere eri enkulaakulana ejja mu bitundu byabwe

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.