OMUYIZI wa siniya abadde agenze ne banne abalala 80 okulambula ebiyiriro by’omugga aseeredde n’agwaayo amazzi ne gamutwala, we bamuggyiddeyo ng’amaze okufa.
Okuggyayo omulambo gw’omuyizi kyatutte ekiseera kuba we yagudde waliwo ebiyiriro ebimanyiddwa nga ‘Griffin’ nga bino birina ebitamu ebiriraaniganye nga buli kitamu omuntu bw’agwaamu amalamu ekiseera ng’okulaba omulambo gwe ate babadde balina okugutega emiguwa basobole okugukwata nga gwakava mu bitamu guleme kweyongerayo.
Ekimu Ku Bitamu Eby'obulabe Ennyo Ku Biyiriro Bya Musaamya.
Omuyizi eyafiiridde mu biyiriro ye Diame Ssebaganda,17, ku lunaku Lwomukaaga emisana yabadde ne bayizi banne ab’essomero lya Namuwongo Community Foundation SS e Bukasa mu Makindye East mu disitulikiti
y’e Kampala.
Avunaanyizibwa ku byokwerinda ku kyalo Waswa ebiyiriro gye bisangibwa nga ye Geoffrey Waiswa yagambye nti, abayizi baabadde bazze ku kyalo okwo omupiira n’abatuuze n’okulambula.
Abayizi n’abakulembeze baabwe okwabadde n’abasomesa olwatuuse ku kyalo ne basooka bagenda okulambula ebiyiriro by’omugga Musaamya nga mu kiseera kino birina amazzi mangi olw’enkuba etekya mu kitundu ekya Mabira mwe gusinga okuyitira.
Abamu Ku Baabaddewo Nga Bakung'aanye Mu Ntiisa.
Annyonnyodde nti, oluvannyuma baafunye amawulire nti, omu ku bayizi abadde yeekuba ebifaananyi essimu n’emusimattuka,mu kugezaako okugitaasa obutagwa mu mazzi ate yaseeredde n’agwaayo.
Wasswa ayongedde n’agamba nti, mu bwangu baakung'aanyizza abavubuka baabwe abawuzi abaagenze ne bategeeragana n’abakulembeze b’abayizi ne batandika okunoonya omulambo kuba babadde bafunye amawulire nti, gubadde tegunnagwa wansi ennyo mu kitamu w’agwiiriddeyo.
Omusajja Omuwuzi Ng'awa Banne Omuguwa Gwe Baategesezza Omulambo Gw'omuyizi.
Nga bakozesa emiguwa emiwanvu ennyo baagyeyambisizza okusibako emiti okuli empenduzo ne batandika okunoonya omulambo okutuusa lwe baagukwasizza ng’obudde buzibye.
Waiswa ayogedde nti, obulabe obuli ku biyiriro bino nti, mu biseera by’enkuba biba n’amazzi mangi ng’ono si ye yekka asoose okugwayo nga waliwo n’Omuzungu eyali akuba ebifaananyi n’agwayo ne bamulaba nga wayise wiiki.
Bo abasomesa n’abayizi baagaanye okubaako kye boogera kuba baabadde mu nsisi era olwatuusizza omulambo bonna baalagiddwa okulinnya mmotoka ezaabatutte okutuusa poliisi lwe yamalirizza okubaggyako sitatimenti.
Omulambo gw’omuyizi gwaggyiddwa mu kibira ne gutwalibwa ku Klezia y’e Wasswa aba poliisi okuva e Nagojje we baggyiddeko abantu sitaatimenti nga bwe balinda bannaabwe okuva e Naggalama okutwala omulambo mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago.
Ebiyiriro bino abantu bagendayo nnyo okubiraba wabula ng’ababimanyi baagala kugendayo mu kyeya wadde nga mu kiseera ekyo tebiba na mazzi mangi gayira, wabula abalala bagamba nti, waseerera nnyo bw’ossaako olugendo lw’otambuza ebigere wakati mu kibira okutuukayo kuba mmotoka teziyingirayo.