Omuwala eyafeze owa Mobile Money 1,400,000/ asimattuse okugajambulwa ab'e Mukono

OMUWALA afeze owa mobile money mu kabuga k'e Namuyenje mu ggombolola y'e Nakisunga mu disitulikiti y'e Mukono asimattuse okugagyambulwa abatuuze.

Omuwala eyafeze owa Mobile Money 1,400,000/ asimattuse okugajambulwa ab'e Mukono
By Eric Yiga
Journalists @New Vision

Josephine Mugara mu kiseera kino ng'akuumibwa ku poliisi y'e Mukono yafeze Renitah Kalungi owa Mobile Money ensimbi 1,400,000.

Kalungi agamba nti omuwala ono yazze ne munne era owatuuse ng'eno bw'ayogerera ku ssimu n'asaba asooke amusindikire 50,000 ku line ya MTN wabula ono bwe yamusabye ssente n'amugumya nti azirina, era wano yamukute obwongo n'amusaba asindike ensimbi endala ku line y'emu oluvannyuma lw'okumuwa omusajja ku ssimu n'ayogera naye era gye byaggweredde nga ku line eno amusindikiddeko akakadde kamu n'emitwalo asatu mwetaano(1,350,000/-) ate nga ku line ya Airtel yasindiseeko emitwalo etaano.

Oluvannyuma Mugara atemeze ku munne gwe yabadde naye n'amulagira okudduka nga bano baabadde bakozesa olulimi Oluteeso kyokka mulirwana w'owa Mobile Money yabadde olulimi alumanyi bulungi era ye yabuusizza owa Mobile Money nti bano babbi baagala kudduka olwo enduulo n'eraya ne bagoba Mugara n'akwatibwa.

Abatuuze beesomye nga baagala kumukuba kyokka Poliisi y'e Wantoni n'emutaasa. Ono yeewozezzaako nti yabadde tadduka wabula yabadde agenda mu kaabuyonjo kweyamba.

Akulira oku misango ku poliisi e Mukono Musa Zziwa Kazibwe yategeezezza nga Mugara bw'agguddwako omusango gw'obubbi era essaawa yonna waakutwalibwa mu kkooti.