Omutaka w'effumbe aziikiddwa mu ffuuti 20 n'embugo 130

ABATUUZE ku kyalo Buleza ekisangibwa e Bakka mu Disitulikiti y'e Wakiso basamaaliridde nga bazzukulu ba Walusimbi abeddira e Ffumbe batereka omubiri gw'Omutaka Ssalongo Eric Rameck Kigozi abadde ow'omutuba gwa Nagaya. Ekyasinze okwewuunyisa Abatuuze,y'entaana eya Fuuti 20 omwaterekeddwa obubiri gw'Omutaka Kigozi era nga yaziikiddwa mu mbugo ezaasobye mu 130  ng'omulambo gwe tegwakkiriziddwako muntu yenna atasikirangako kifundikwa. Ssaalongo Kigozi,yafa ku Lwakuna lwa Wiiki ewedde nga yafa kibwatukira kyokka kyategerekese nti baabadde tebayinza kumuziika ne baleka Entebe ya Nagaya nga nkalu.

Omutaka w'effumbe aziikiddwa mu ffuuti 20 n'embugo 130
By James Magala
Journalists @New Vision
ABATUUZE ku kyalo Buleza ekisangibwa e Bakka mu Disitulikiti y'e Wakiso basamaaliridde nga bazzukulu ba Walusimbi abeddira e Ffumbe batereka omubiri gw'Omutaka Ssalongo Eric Rameck Kigozi abadde ow'omutuba gwa Nagaya.
 
Ekyasinze okwewuunyisa Abatuuze,y'entaana eya Fuuti 20 omwaterekeddwa obubiri gw'Omutaka Kigozi era nga yaziikiddwa mu mbugo ezaasobye mu 130  ng'omulambo gwe tegwakkiriziddwako muntu yenna atasikirangako kifundikwa.
Tak 2(2)

Tak 2(2)

 
Ssaalongo Kigozi,yafa ku Lwakuna lwa Wiiki ewedde nga yafa kibwatukira kyokka kyategerekese nti baabadde tebayinza kumuziika ne baleka Entebe ya Nagaya nga nkalu.
 
Wano Katikkiro wa Nagaya Peter Musajja aliddeki Kisitu yategeezezza Jajja Walusimbi nti baakoze emikolo gyonna egiyitibwamu okufuna Nagaya era n'amwanjulira Eric Kigozi Rameck nti omutaka Kigozi gweyalonda okumuddira mu bigere.
 
Nta 2

Nta 2

Oluvannyuma lw'okumumwanjulira Jajja Walusimbi Yusuf Mbirozankya Kibumba Makubuya,yasumikidde Eric Kigozi Rameck ow'emyaka ebiri n'ekitundu era n'amutuuza nga Nagaya omujjuvu.
Tak 5

Tak 5

 
Walusimbi yakuutidde bazzukulu be abava mu mutuba gwa Nagaya okukola kyonna ekisoboka betikkireko Nagaya omuggya ku mugugu gweyetisse n'ategeeza nti essiga lya Nagaya kkulu nnyo mu kikaka ky'e Ffumbe nti n'olwekyo bateekwa okumuwanirira.
 
Oluvannyuma emikolo gy'okutereka Omutaka Kigozi gyagenze mu maaaso wakati mu Namungi w'omuntu era nga era nga omulambo olwatuusiddwa ku Ntaana waliwo abaasose okukka munda mu Ntaana ne baalirirayo embugo era nga bano bakkiririddeyo ku Ddaala lya Fuuti 20 nga bangi baasigadde banyeenya Mitwe!
Tak 9(1)

Tak 9(1)

 
Omubaka wa Busiro East,Medard Lubega Ssegona ye yabadde Omukungubazi omukulu nga yatenderezza Omutaka Kigozi olw'okuyimirirawo ku mazima n'asaba abantu okumulabirako era nga wano yasabye abantu ba Buganda okufungiza balwanirire ettaka lya Mayiro.
 
Oluvannyuma lw'okutereka Omutaka Kigozi,Katikkiro w'Omutuba gwa Nagaya,yayanjulidde abantu Nagaya omuggya Eric Rameck Kigozi ow'emyaka ebiri n'ekitundu kyokka n'asaba abantu okwewala entalo mu mutuba guno wadde nga Jajja abakulembera kati mupya mu Ntebe eyo