Omusumisi atabukidde abatambuza ekiboozi mbu embugo za sitaani

OMUSUMISI atabukidde abantu ababuzaabuza bannabwe nga babalimba nti embugo n'okwabya ennyimbe bya sitaani kyagamba nti abakikola bagenderera kusaanyawo nnono.Samuel Lwanga Nkalubo eyabadde asumikiira Milly Nabwami e Nabweru mu divizoni ye Nansana yatabukidde abantu baagamba nti bafunvubidde okusanyaawo Buganda nga balimba abantu nti embugo za sitaani era nti yenna azikozesa tali laba ggulu.

Omusumisi Lwanga Nkalubo nga ayogera oluvanyuma lwo kutuuza Milly Nabwami ku bisika
By Steven Kiragga
Journalists @New Vision

OMUSUMISI atabukidde abantu ababuzaabuza bannabwe nga babalimba nti embugo n'okwabya ennyimbe bya sitaani kyagamba nti abakikola bagenderera kusaanyawo nnono.

Samuel Lwanga Nkalubo eyabadde asumikiira Milly Nabwami e Nabweru mu divizoni ye Nansana yatabukidde abantu baagamba nti bafunvubidde okusanyaawo Buganda nga balimba abantu nti embugo za sitaani era nti yenna azikozesa tali laba ggulu.

Milly Nabwami nga atuzibwa ku busika

Milly Nabwami nga atuzibwa ku busika

Lwanga agamba nti Buganda etambulira ku nnono era nga okwabya enyimbe kuyamba okunyweeza obwa sseruganda mu kika.

Wano Ssaalongo Jamada Ssemakula atwala ebyettaka ku ggombolola ye Nabweru weyasinzidde n'ayambalira Abaganda abakozesebwa okusanyaawo Obuganda nga batunda ettaka ssaako okugunjawo ennyambala ewebuula Obuganda.

Bu 9(3)

Bu 9(3)

Omusika yakutiddwa okutwaala ekyokulabirako kya ssengawe Margaret Nabwami eyali omukozi era ayanirizza abantu awatali kusosolwa