Bamusibye emyaka 50 kutta mwana wa muserikale munne

May 09, 2024

OMULAMUZI Margaret Mutonyi awadde owapoliisi ekibonerezo kya kusibwa emyaka 50 lwa kutta mwana wa muserikale munne.

Abura

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

OMULAMUZI Margaret Mutonyi awadde owapoliisi ekibonerezo kya kusibwa emyaka 50 lwa kutta mwana wa muserikale munne.
Emmanuel Abura 47, ow’eddaala lya Inspector Of Police (IP) yatta Faith Namawejje 9.
Omwana yamutuga, n’amusibamu waya n’agisiba ku musumaali okulowoozesa abantu nti yali yeetuze.
Omulamuzi bwe yabadde asiba Abura yagambye nti alina omutima omugumu ng’ejjinja ogutaliimu kwenenya kwonna ku bulumi bwe yalekera ffamire y’omwana.
Nga November 6, 2021, Lydia Takali, maama wa Patience Namawejje 9, yamuleka ku dduuka kyokka yagenda okudda ng’omwana alengejja, ennyumba esibiddwaawo ng’ekisumuluzo kikasukiddwa wabweru.
Yasanga Abura afuluma ekikomera, alowoozese abalala nti omwana yeesibidde mu nju ne yeetuga. Mu kiseera ekyo, ffamire zino zaalina obutakkaanya era kigambibwa bwe bwaleetera Abura okutta omwana wa banne.
Ensonga z’obutakkaanya bwa bano zaatuuka ne mu bakulu ensonga ne bazituulamu kyokka ne balema okukkaanya.
Ekyasinga okunyiiza ye mwana (omugenzi) okukozesa essimu ya nnyina n’akwata akatambi nga Abura abayombesa era n’awera okubatuusaako obulabe bw’aliba asobodde.
Omulamuzi yagambye nti omwana ono yafa mangu ate mu bulumi obungi nga weetaaga okubaawo obwenkanya.
Omulamuzi yasindise Abura mu kkomera amaleyo emyaka 50 wabula n’atoolako emyezi musanvu gye yamala ku limandi nga taweebwa kakalu ka kkooti olwo waakukulungula emyaka 49 n’emyezi ena mu kkomera. Yamugambye waddembe okujulira mu nnaku 14

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});