Bya Saul Wokulira
Omusika atunze ettaka ly’ebiggya, abafamire ne bataama kubanga eng’umbagumba za bakadde baabwe zisulirira kusimulwa.
Omusika akkirizza nti kituufu yatunda naye yasooka kutegeeza ab’ekika ky’Enkima aba waggulu.
Batuuzizza olukiiko lwa famire olwetabiddwaamu n’abataka ne bayita Collins Kafeero ow’eddembe ly’obuntu n’amaka e Kayunga okubalung’amya ku kyebateekeddwa okukola okutaasa ekiggya kyabwe.
Kiggundu William 60, omusika wa Stanely Lwanga amaaso gamumyuse baganda be bwe bamulumirizza okutunda ettaka ly’ebiggya ate nga naye yagabana ekitundu kye.

Kafeero Ng'ayogera Eri Abafamire.
Bino biri ku kyalo Nyiize mu ggombolola y’e Kangulumira mu disitulikiti y’e Kayunga.
Omu ku bawala b’omugenzi Lwanga nga ye Ruth Namuddu ku lwa banne asimbye nakakango nti okufa n’obutanyagwa baagala ettaka ly’ekiggya bonna abaaguzibwa balyamuke era n’abo ababadde batandise okuzimba bagobebweko.
Namuddu agambye nti buli mwana yagabana ekitundu kye kyokka Kiggundu bwe yatunda ebibye n’abimalawo kwe kudda ku kiggya era n’asooka asalako poloti okukyetoloola n’oluvannyuma kyonna n’akikuba ebbeeyi.
Kiggundu agambye nti bwe yatunda alina ekifo ekirala kye yagula lwakuba kikyabulako ssente ekiri mu mannya ge ng'awo w’asuubira okuzza ebisigalira.

Ekiggya Ekigambibwa Nti Omusika Yakitunze.
Kiggundu agamba nti bino byonna yabikola ng'awagirwa abakulu b’ekika ky’Enkima era yabakubira essimu ne bamuwagira.
Abamu ku baagula poloti ku ttaka ly’ekiggya olukiiko balwetabyemu era ensobi ne bagissa ku b’akakiiko ka LC I ku kyalo ky’e Nyiize abataabawabula nga bagula.
Kafeero alagidde abaagula ku ttaka ly’ebiggya obutaddamu kulinnyayo kigere era bagende eri Kiggundu eyabaguza abaddize ssente.
Kafeero alagidde abafamire batuuze olukiiko ebinaavaamu babimuweereze, ensonga azongereyo ew' avunaanyizibwa ku by’abafu abitereeze.