Omusango ogwawawaabirwa omubaka wa Bukomansimbi gusalwa leero

OMUSANGO Ruth Katushabe eyali omubaka wa Bukomansimbi North gwe yawaawabira omubaka Christine Ndiwalana akiikirira ekitundu kino n'akakiiko ‘kebyokulonda e Bukomansimbi gwakusalwa leero.

Omusango ogwawawaabirwa omubaka wa Bukomansimbi gusalwa leero
By Phiona Nanyomo
Journalists @New Vision
#Amawulire

Katushabe yaddukira mu kkooti  enkulu e Masaka nga avunaana Ndiwalana olw'obutaba na buyigirize bumala ku kiikirira abantu mu Palamenti n'okugulirira abalonzi.

Katushabe era yawawaabira akulira akakiiko k'ebyokulonda e Bukomansimbi Esther Asiimwe nga agamba nti yalangirira Ndiwalana mu bukyamu.