Amawulire

Omusajja eyeekumyeko omuliro okumpi ne palamenti addusiddwa e Mulago ng'ali bubi

Omusajja atwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago ng'ali mu mbeera mbi, oluvannyuma lw'okwekumako omuliro ne yeeyokya okumpi ne palamenti mu Kampala.

Omusajja eyeekumyeko omuliro okumpi ne palamenti addusiddwa e Mulago ng'ali bubi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omusajja atwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago ng'ali mu mbeera mbi, oluvannyuma lw'okwekumako omuliro ne yeeyokya okumpi ne palamenti mu Kampala.

Bino bibaddewo kumakya galeero omusajja ono abadde ayambadde ebyakyenvu, bwe yeekumiddeko omuliro okumpi n'omulyango oguyingira mu Parliamenti.

Tekinnategeerekeka nsonga ntuufu evuddeko enjega eno naye nga poliisi eri mu kubuuliriza.

Omwogezi wa. Poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeegezza nti okunoonyereza kukolebwa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
muliro
kwekumako