Omusajja agambibwa okukakkana ku bafumbo ababiri n'abatta e Kyankwanzi, akwatiddwa poliisi.
Kidiridde omutemu, okulumba Awali Sentongo ne mukyalawe Doreen Ayebare ng'ali lubuto lukulu n'abatematema ebiso n'abatta.
Bano, baali batuuze b'e Kizungu cell mu Ggombolola y'e Ntunda e Kyankwanzi era nga baabalumba mu nnyumba gye bbaabattira mu wiiki ewedde.
Amon Semakula abadde y'Akayimbulwa okuva mu kkomera, y'akwatiddwa nga kigambibwa nti aliko abalala era beyatta.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti Ono abadde asula mu nsiko era nga gy'abadde asinziira okutemula, okutta n'okubba abantu.
Agasseeko nti era akkiriza nga bwe yatta abagenzi bwe yabasaba ssente ne bazimumma.
Omuntu y'omu era kigambibwa nti akkiriza eky'okugezaako okutta Kamada Karume, okuwamba Esther Kamwine era nga poliisi ng'eri wamu n'abatuuze, babamuyizze ne bamukwata