Amawulire

Omupakasi atetemye Mukamaawe , lwa kugaana kumusasula 20,000

OMUPAKASI avudde mu mbeera, n'atemaatema mukamaawe n'amutta, lwa kugaana kumusasula shs 20,000/ , z'abadde akoledde

Omupakasi asse Mukamawe
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUPAKASI avudde mu mbeera, n'atemaatema mukamaawe n'amutta, lwa kugaana kumusasula shs 20,000/ , z'abadde akoledde

 

Poliisi e Kiboga ekutte Maniriho Baseme 27 omutuuze ku kyalo Kiryamuli mu muluka gw'e Nakasozi mu Ggombolola y'e Nakasozi e Kiboga, kubigambibwa nti asse mukamaawe Vincent Ssengaga 47 abadde omulimi owamaanyi mu kitundu ekyo.

 

Kigambibwa nti omugenzi , yapangisizza Baseme n'omulala Senteza bamunogereko  emmwaanyi ku shs 20,000/.

Nti nga bamalirizza omulimu, batandise okukanda Ssengaga ssente zaabwe era Maniriho n'asalawo okugenda n'endebe y'emmwaanyi emu ku kifuba , asobole okwesasula , boss kye yagaanyi.

 

Ekyadiridde Ssengaga kujjayo muggo n'akuba omupakasi , era omupakasi naye kwe kusikayo ejjambiya, n'amutema ensingo n'omukono n'abulawo.

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala , Lameck Kigozi, agambye nti bamuyoddeyodde ne bamutwala mu kalwaliro k'e Nakasozi ne bamwongerayo e Kiboga n'afiira mu kkubo.

 

Agasseeko nti embwa ekulembeddemu abasirikale ne bakwata omupakasi ono era akuumirwa ku poliisi e Kiboga nga n'ejjambiya ekozeseddwa mu butemu, nayo ezuuliddwa ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Maniriho
Omupakasi
Lameck Kigozi
Nakasozi