Omuntu omu afudde n'omulala omu n'alumizibwa ekizimbe kya kalina bwe kigwiridde ennyumba e Ntinda mu Kampala mu kiro ekikeesezza leero.
Akabenje kabadde mu Ntinda zzooni 14, ekizimbe bwe kisse Rose Atuhaire ate omusajja atannamanyika bimukwatako , n'atwalibwa mu ddwaaliro ng'ataawa.
Mu kiseera kino, poliisi n'abazirakisa, bakyagenda mu maaso n'okunoonya mu bifunfugu okuzuula oba nga waliyo abalala abakyawagamidde, okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala.