Amawulire

Omulondo gulinnyisa omutindo gw’enkwaso

BWE weekaliriza obulungi obubaka bw’abakugu mu by’obulamu, omusajja ayagala okwongeza ku mikisa gye egy’okuzaala wamu n’okuwanga mukyala we essanyu ery’etaagisa mu mukwano, alina kwettanira mulondo

Omusdadjoja g nwga’ aklayma youm nugloan do.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BWE weekaliriza obulungi obubaka bw’abakugu mu by’obulamu, omusajja ayagala okwongeza ku mikisa gye egy’okuzaala wamu n’okuwanga mukyala we essanyu ery’etaagisa mu mukwano, alina kwettanira mulondo. Omukugu mu by’endiisa, Patience Denise Musiime, annyonnyola nti, omulondo gulimu ebirungo ebiyitibwa ‘Ginsenoides’, era nga ebirungo bino biyambako mu kuggula emisuwa gy’omuntu omusaayi ne gulyoka gusobola okutambula ne gutuuka bulungi mu buli katundu akagwetaaga ku mubiri gwe. Mu musaayi okutalaaga obulungi mu bitundu by’omubiri byonna awatali kutaataaganyizibwa, awo omusajja w’afuniramu naddala bwegutuuka ku kaseera ak’okwesanyusa ne mukyala we kubanga asituka bulungi.
Omulondo gukola n’omulimu gwa ttendo mu kukola / okuzaala enkwaso z’omusajja wamu n’okwongera ku mutindo gwazo. Bw’obeera n’enkwaso ez’omutindo omubi / ogwa wansi, emikisa gyo egy’okufunyisa omukyala olubuto gikendeera.
Abakugu beekenneenya omulondo ne bakizuula nga gwongeza ne ku bwagazi bw’okwegatta mu bakyala n’abaami.
Ate ku bakyala gubayambako mu kuzaala amazzi aganyeerera agataasa omusajja okukosebwa singa beegatta.
“Okugaaya omulondo obutereevu si kibi, wabula okuguganyulwamu ennyo kubeerawo ng’okozesezza omulondo abakugu gwe bongeddeko omutindo ne bafulumya nga guli mu ngeri eyamakerenda, kapiso n’ebirala”, Musiime bwe yawabudde

Tags: