ABANTU basatu batuusiddwako ebisago eby’amaanyi, muliro ogukutte ennyumba ezisoba mu 10 e Katwe.
Abakoseddwa mu muliro ogukutte mu Kinyoro zzooni e Katwe mu Kampala, kuliko abakyala babiri n'omusajja omu era nga mu kiseera kino, bagenda mu maaso n'okufuna objujanjabi.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bakyanoonyereza ku kivuddeko omuliro guno.
Poliisi e Wakiso enoonyereza ku baana 9 , abasaangiddwa mu emu ku nnyumba e Wakiso gye bagambibwa okukuumibwa Mubarrak Tayebwa .